Proverbs 1

1 aEngero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.

2Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga,
era n’okutegeera ebigambo eby’obulabufu; eby’obulamu eby’amagezi n’empisa.
3Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi,
okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;
4 bokuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu,
n’abavubuka okufuna okumanya n’okutegeera.
5 cN’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga
n’abategeevu beeyongere okubangulwa.
6 dEra engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero,
enjogera n’ebikokyo.

7 eKale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.

Amagezi eri Abavubuka

8 fMwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,
era tolekanga kukuutira kwa maama wo;
9 gbijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,
n’emikuufu mu bulago bwo.

10 hMwana wange abakozi b’ebibi bwe bakusendasendanga,
tokkirizanga.
11 iBwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse,
tunyage, tubbe n’okutta;
tokkirizanga;
12 jng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu,
era nga balamba, ng’abagenda mu bunnya obuwanvu;
13nga twefunira eby’obugagga bye tutakoleredde,
ne tujjuza amayumba gaffe obugagga obubbe;
14ng’ababi batuyita tubeegatteko,
tugabane kyenkanyi ebibbe n’ebinyage.”
15 kMwana wange totambuliranga wamu nabo,
era ekigere kyo kiziyize okukwatanga ekkubo lyabwe:
16 lKubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi,
era kibanguyira okuyiwa omusaayi.
17Nga kuba kumala biseera okutega omutego,
ng’ekinyonyi ky’oyagala okukwata kikulaba,
18naye abantu ng’abo baba beetega bokka,
baba beetega omutego ogunaabakwasa bo bennyini.
19 mBwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu.
Obugagga obw’engeri eyo busaanyaawo obulamu bw’abo ababufuna.

Okulabula Eri Abanyooma Amagezi

20 nAmagezi galeekaanira waggulu mu nguudo;
gayimusa amaloboozi gaago, mu bifo ebigazi eby’omu bibuga.
21Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira,
era gasinzira mu miryango gy’ekibuga ne googera:

22 oMulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi,
nammwe ab’amalala okunyoomanga eby’amagezi n’abasirusiru okukyawanga okumanya?
23Kale singa muwuliriza okunenya kwange,
laba, ndifuka omutima gwange
n’ebirowoozo byange mu mmwe.
24 pKubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza,
ne ngolola omukono ne wataba n’omu afaayo,
25era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa,
era ne mugaana okubuulirira kwange kwonna,
26 qkale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku,
era mbakudaalire ng’entiisa ebagwiridde.
27Entiisa bw’eribajjira ng’omuyaga omungi,
ennaku n’okubonaabona, okulumwa n’obubalagaze,
28 rkale balinkoowoola, naye siriyitaba;
balinnoonya obutaweera naye ne batandaba.
29 sKubanga baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya,
era ne bamalirira obutatya Mukama.
30 tNe bagaana okuwuliriza amagezi gange;
ne banyooma okunenya kwange kwonna.
31 uKyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi,
era ne bajjula ebibala eby’enkwe zaabwe.
32 vObusirusiru bulitta ab’amagezi amatono
n’obutafaayo bulizikiriza abasirusiru,
33 wnaye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe,
ng’agumye nga talina kutya kwonna.
Copyright information for LugEEEE